Judges 5:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukama, bonna abalabe bo bazikirire! Naye abo abakwagala babeere ng'enjuba bw'evaayo n'amaanyi gaayo gonna.” Awo ensi n'eweerako okumala emyaka amakumi ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Mukama Katonda abalabe bo bazikirirenga bwe batyo nga Sisera. Naye abo bonna abakwagala bamasemasenga ng’enjuba ey’akavaayo mu maanyi gaayo.” Awo ne wayitawo emyaka ana nga Abayisirayiri bali mu mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo, ai Mukama abalabe bo bonna bazikirirenga; Naye abo bonna abakwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Awo ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo abalabe bo ayi Mukama bazikirirenga bonna. Naye abakwagala bonna baakaayakane ng'enjuba evayo. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bazikirirenga abalabe bo bonna, ai Mukama: Naye abo bonna abamwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Ensi n'ewummulira emyaka amakumi ana.