Judges 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukama, bwe wajja ng'ova mu Seyiri, bwe wasimbula ekigere okuva mu nsi y'e Edomu, ensi yakankana, n'eggulu ne litonnya, n'ebire ne bitonnya amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama, bwe wava e Seyiri, bwe wava mu kitundu kya Edomu okutabaala, ensi n’ekankana, enkuba n’eyiika okuva mu ggulu. Weewaawo, ebire ne bifukumuka amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala, Ensi n'ekankana, eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri n'ova mu Edomu okutabaala, ensi yakankana n'eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala: Ensi n'ekankana, era n'eggulu ne litonnya, Weewaawo, ebire ne bitonnya amazzi.