Judges 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu budde bwa Samugari mutabani wa Anati, mu budde bwa Yayeli, amakubo nga makalu; abatambuze nga bakwata bukubo busaliikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku mulembe gwa Samugali, mutabani wa Anasi, ne ku mulembe gwa Yayeeri abatambuze tebaayitanga, mu nguudo nnene, baatambuliranga mu mpenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gya Samugari mutabani wa Anati, mu mirembe gya Yayeli enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo tezaalimu bantu, Abatambuze ne batambuliranga mu mpenda: