Judges 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abatuuze mu byalo baggwaamu; ddala baggwaamu mu Yisirayeli, okutuusa lwe nasituka, nze Debora, okutuusa lwe nasituka, omuzadde mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze mu Isirayiri baggwaawo okutuusa nze Debola lwe nayimuka, nga nnyina wa bonna mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyalo byafuuka matongo, Okutuusa ggwe Debola bwe wajja, nga nnyina wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyalo byakala, byaggwaamu abantu, okutuusa ggweDebora lwe wajja nga nnyina wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafuga baggwaawo mu Isiraeri, baggwaawo, Okutuusa nze Debola lwe nnabaawo. Lwe nnabaawo nze omukadde mu Isiraeri.