Judges 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe baalonda balubaale abaggya, olutalo ne lubajjira ku mulyango gw'ekibuga. Naye ani yalaba ku ngabo oba effumu mu mitwalo ena egya Yisirayeli?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe beefunira abakulembeze abalala, entalo ne ziryoka zibalukawo mu Isirayiri. Ku basajja Abayisirayiri emitwalo ena kwaliko n’omu eyalina effumu oba engabo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri bwe baweereza bakatonda abalala; Olwo entalo ne zibaawo mu Isiraeri. Mu basajja emitwalo ena (40,000) Isiraeri, Waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baasenga balubaale abaggya, olwo ne wabaawo olutalo mu Yisirayeli. Mu basajja emitwalo ena mu Yisirayeli, waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baalonda bakatonda abaggya; Entalo ne ziryoka zibeera mu miryango: Waalabika engabo oba kitala; Mu basajja bukumi buna mu Isiraeri?