Judges 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omutima gwange guli n'abafuga Yisirayeli, guli n'abo abeewaayo kyeyagalire; mutendereze Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwange guli eri abakulembeze b’Abayisirayiri, n’eri abantu abeewaayo nga baagala. Mutendereze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, abeewaayo bokka mu bantu nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsanyukira abakulembeze ba Yisirayeli, era n'abantu abeewaayo nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, Abeegabula bokka mu bantu nga baagala: Mumwebaze Mukama.