Judges 6:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabagamba nti: “Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga balubaale b'Abaamori bannannyini nsi mwe muli.” Naye mwagaana okuwulira eddoboozi lyange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda b’Abamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu.’ Naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga bakatonda b'Abamoli ba nannyini nsi gyemutulamu,’ naye ne mutawulira ddoboozi lyange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mbagamba mmwe nti nze Mukama Katonda wammwe. Temuusinzenga balubaale b'Abaamori bannannyini nsi gye mulimu. Naye temwawulira kye mbagamba.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mbagamba nti Nze ndi Mukama Katonda wammwe; temutyanga bakatonda b'Abamoli, bemutuulira mu nsi yaabwe: naye temuwulidde ddoboozi lyange.