Judges 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'ajja, n'atuula mu muvule ogwali e Ofura, ogwa Yowasi ow'omu nyumba ya Abiyezeri. Mutabani we Gidewoni yali awuula ŋŋano mu ssogolero ly'evviini, atere agikweke Abamidiyaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’ajja mu Ofula, n’atuula wansi w’omuti omwera ogwali ogwa Yowaasi ow’omu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera ogwa Yowaasi Omwabiezeri: Gidyoni mutabani we yali mussogolero nga awuula eŋŋaano agikise Abamidiyaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Malayika wa Mukama n'ajja n'atuula wansi w'omuvule gw'e Ofura ogwa Yowaasi Omwabiyezeeri. Gidiyoni mutabani wa Yowaasi oyo, yali ng'awuula eŋŋaano mu ssogolero ly'emizabbibu, okugikisa Abamidiyaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera, ogwali mu Ofula, kye kyali ekya Yowaasi Omwabiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali awuula eŋŋaano mu ssogolero agikise Abamidiyaani.