Judges 6:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'amulabikira, n'amugamba nti: “Omukama ali naawe, ggwe omutabaazi omuzira!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama Katonda n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti, “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'amulabikira n'amugamba nti: “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi, omuzira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.