Judges 6:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'akyukira gy'ali n'amugamba nti: “Genda n'amaanyi g'olina ago owonye Yisirayeli mu mikono gya Midiyaani. Si nze nkutumye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’amukyukira n’agamba nti, “Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti, “Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani; si nze nkutumye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'akyukira Gidiyoni n'agamba nti: “Genda n'amaanyi go ago gonna, oggye Yisirayeli mu buyinza bwa Midiyaani, nze nkutumye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani: si nze nkutumye?