Judges 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Nzija kubeera naawe. Ojja kuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe, era olyanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Mazima nja kubeera wamu naawe, era ojja kwanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Mazima ndibeera wamu naawe, era olikuba Abamidiyaani ng'omuntu omu.