Judges 6:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'amuddamu nti: “Obanga nsanze ekisa mu maaso go, mpa akabonero akakakasa nti ggwe oyogera nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’amuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'addamu nti: “Oba nga onsiimye, mpa akabonero akalaga nga ggwe ayogera nange, ggwe Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange.