Judges 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tova wano okutuusa lwe nnadda gy'oli nkuleetere ekitambiro, nkikuweereze.” Ye n'amuddamu nti: “Nzija kulindirira okutuusa lw'onodda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” Mukama n’agamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lw’onookomawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti, “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti: “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tova wano, nkwegayiridde, okutuusa lwe nnajja gy'oli, ne nfulumya ekirabo kyange, ne nkiteeka mu maaso go. N'ayogera nti Naabeera wano okutuusa lw'onookomawo.