Judges 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'ayingira, n'afumba akabuzi, n'addira n'efa y'eŋŋano n'afumba emigaati egitazimbulukuse. Ennyama n'agissa mu kisero, omucuuzi n'agussa mu katamu, byonna n'abitwala n'abimuweereza wansi w'omuvule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta; ennyama n'agiteeka mu kibbo, omucuuzi gwayo n'aguteeka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Gidiyoni n'ayingira mu nnyumba, n'afumba embuzi ento, era n'agoya kilo kkumi ez'obuwunga n'akolamu emigaati egitazimbulukusiddwa. Ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'omukyuzi n'agufuka mu kibya, n'abireeta eri malayika wa Mukama, n'abimuweera wansi w'omuvule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta: ennyama n'agiteeka mu kibbo, n'amazzi gaayo n'agafuka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa.