Judges 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Midiyaani bwe yabanyigiriza ennyo, ne beekolera obwekwekero mu nsozi, empuku n'obufo obwesiifu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamidiyaani ne banyigiriza nnyo Abaisiraeri; abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu ku nsozi okwekwekamu era n'ebekwekanga ne mu mpuku ne mu bifo ebyekusifu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Midiyaani n'esinga nnyo Yisirayeli amaanyi, Abayisirayeli ne beekweka mu mpuku ne mu bifo ebirala ebyekusifu mu nsozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukono gwa Midiyaani ne guwangula Isiraeri: era olwa Midiyaani abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu obuli ku nsozi n'empuku n'ebigo.