Judges 6:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika wa Katonda n'amugamba nti: “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuse obisse ku jjinja liri, n'omucuuzi ogufuke kuli.” Bwe yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye malayika wa Katonda n’amulagira nti, “Ddira ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni n’akola bw’atyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omucuuzi gw'ennyama.” N'akola bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika wa Mukama n'amulagira nti: “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukusiddwa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omukyuzi.” Gidiyoni n'akola bw'atyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika wa Mukama n'amugamba ati Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, ofuke amazzi g'ennyama. N'akola bw'atyo.