Judges 6:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'agolola omuggo gwe gwe yali akutte mu ngalo, n'akoona n'akasongezo ku nnyama n'emigaati egitazimbuluse. Omuliro ne guva mu lwazi ne gusenkenya ennyama n'emigaati egitazimbulukuse. Malayika w'Omukama n'abula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama Katonda n’akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama n’abulawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gwokya ennyama n'emigaati; malayika wa Mukama n'abulawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'asitula ekikolo ky'omuggo gwe yali akutte, n'akoona ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukusiddwa, omuliro ne guva mu jjinja, ne gwokya ennyama n'emigaati. Malayika wa Mukama n'abula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gulinnya, ne gumalawo ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa; malayika wa Mukama n'ava mu maaso ge.