Judges 6:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni bwe yalaba nti abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti: “Nga ndabye! Kubanga ndabye malayika w'Omukama maaso ku maaso.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’ategeera ng’oyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni n’agamba nti, “Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti, “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti: “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'alaba nga ye malayika wa Mukama; Gidyoni n’ayogera nti Zinsanze, ai Mukama Katonda, kubanga ndabaganye n'amaaso ne malayika wa Mukama.