Judges 6:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro ekyo, Omukama n'amugamba nti: “Kwata ente ya kitaawo ennume, enkulu obulungi, eweza emyaka omusanvu. Menyawo omwaliiro gwa Baali kitaawo gwe yamuzimbira, n'empagi eriraanye omwaliiro ogitemewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Kwata ente endala ennume ey'emyaka omusanvu (7), omenyewo ekyoto, kitaawo kye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Kwata ente ya kitaawo ennume, n'ente endala ennume ey'emyaka omusanvu, omenyewo alutaari, kitaawo gye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu kiro ekyo Mukama n'amugamba nti Ddira ente ya kitaawo, ye nte ey'okubiri ey'akamaze emyaka omusanvu, osuule ekyoto kya Baali kitaawo ky'alina, otemeeteme ne Asera akiri okumpi: