Judges 6:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'alonda abasajja kkumi mu baweereza be, n'akola ng'Omukama bwe yali amulagidde. Yalondawo kubikola kiro, si misana, olw'okutya ennyumba ya kitaawe n'abasajja b'ekibuga ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni n’atwala kkumi ku baddu be, n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olw’okutya ab’omu nju ya kitaawe n’abantu abalala ab’omu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi (10), ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde; naye olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ob'omukibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akikola ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Gidiyoni n'atwala abasajja kkumi ku baweereza be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde. Olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'ab'omu kibuga, n'atayinza kukikola misana, wabula n'akikola ekiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde: awo olwatuuka, kubanga yali atidde ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ab'omu kibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akola ekiro.