Judges 6:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'ekibuga ekyo bwe baazuukuka ku makya, ne kibabuukako okulaba ng'omwaliiro gwa Baali gwamenyeddwa n'empagi ya Asera eyali eguliraanye ng'etemeddwa, ate ng'ente ennume enkulu obulungi eweerezeddwa ng'ekitambiro ekyokye ku mwaliro ogwakazimbwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’omu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, n’ekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, n’ente eya ssava ng’eweereddwayo ku kyoto ekiggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo eyokubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkeera ku makya, ne balaba ng'alutaari ya Baali emenyeddwawo, n'empagi ya Asera egibadde okumpi ng'etemeddwawo, nga n'ente ennume eyookubiri eyokeddwa ku alutaari ezimbiddwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo ey'okubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa.