Judges 6:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beebuuza nti: “Ani akoze kino?” Bwe baabuuliriza ne babagamba nti: “Gidewoni mutabani wa Yowasi ye yakoze bino byonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beebuuza nti, “Ani akoze kino?” Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi y’akikoze”.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beebuzaganya nti, “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza era ne bakemereza, ne boogera nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye y'akikoze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne beebuuzaganya nti: “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza, ne bazuula nga Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi ye akikoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagambagana nti Ani akoze kino? Awo bwe baabuuza ne bakemereza, ne boogera nti Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye akoze kino.