Judges 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abaamaleki n'abalala abantu ab'ebuvanjuba nga babalumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu ab’ebuvanjuba ne babalumbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Abaisiraeri buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Abayisirayeli buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Isiraeri bwe yamalanga okusiga, Abamidiyaani ne bayambukanga n'Abamaleki n'abaana ab'ebuvanjuba, nabo baabayambukirako;