Judges 6:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba Yowasi nti: “Mutabani wo muleete; asaanira kufa, kubanga yamenyeewo omwaliiro gwa Baali n'atema n'empagi ya Asera ebadde eriranyeewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era n’atemaatema n’ekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagamba Yowaasi nti: “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye alutaari ya Baali era atemyewo empagi ya Asera egibadde okumpi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti Fulumya mutabani wo afe: kubanga amenyeemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.