Judges 6:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi n'abaddamu bonna abaali bamwebunguludde nti: “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kumuwonya? Anaalwanirira Baali we bunaakeerera anaaba attiddwa. Oba Baali lubaale, ajja kwerwanako nga waliwo amenya omwaliiro gwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaasi n'agamba bonna abaamulumba nti, “Mwagala kuwolereza Baali oba mwagala kumulwanirira? Ayagala okumuwolereza wakuttibwa nga bukyali bwankya; oba nga ye Katonda yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yowaasi bonna abaamulumba n'abagamba nti: “Mwagala okuworereza Baali? Oba mwagala kumulwanirira? Buli ayagala okumuwolereza wa kuttibwa nga tebunnakya nkya. Oba nga Baali lubaale, yeewolereze, kubanga alutaari emenyeddwa yiye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaasi n'agamba bonna abamuyimiridde mu maaso ge nti Mwagala okuwolereza Baali? oba mwagala okumulokola? ayagala okumuwolereza, bamutte nga (bukyali) bwa nkya: oba nga ye katonda, yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.