Judges 6:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku olwo Gidewoni ne bamutuuma Yerubbaali, nga bagamba nti: “Ka Baali amulwanyise, kubanga yamenyawo omwaliiro gwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva olwo Gidyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti, “Baali yeewolereze kubanga ekyoto kye kyebamenye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwo Gidiyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti: “Baali yeewolereze, kubanga alutaari ye gye bamenye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku luaaku olwo kyeyava amuyita Yerubbbaali, ng'ayogera nti Baali amuwawaabire kubanga amenyeemenye ekyoto kye.