Judges 6:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yatuma ababaka wonna mu Manasse n'abakunga bamugoberere; naye n'amugoberera; n'atuma n'ababaka abalala mu Aseeri, Zebuluni, Nafutali; nabo ne bajja okumusisinkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atuma ababaka eri ab’ekika kya Manase nabo bamugoberere. N’atuma n’ababaka abalala eri ab’ekika kya Aseri, n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bamusisinkane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma ababaka okubuna Manase yonna; era nabo ne bajja gy'ali. N'atuma ababaka eri Aseri, Zebbulooni ne Nafutaali nabo ne bajja gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma ababaka mu bitundu bya Manasse byombi okuyita abaayo bamwegatteko. N'atuma n'ababaka eri ab'Ekika kya Aseri n'ekya Zebbulooni, n'ekya Nafutaali, Ne bajja ne bamwegattako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma ababaka okubuna Manase yenna; era nabo ne bakuŋŋaanira wamu gy'ali: n'atuma ababaka eri Aseri n'eri Zebbulooni n'eri Nafutaali; ne bayambuka okubasisinkana.