Judges 6:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
laba, nzija kussa eddiba ly'endiga mu gguuliro. Omusulo bwe gunaaba ku ddiba kwokka, ettaka okwetooloola nga kkalu, nnaamanya ng'onoowonya Yisirayeli n'omukono gwange nga bwe wagamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ka nteeke ebyoya by’endiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ng’ettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ng’olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
laba bwe n'ateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; omusulo ne guba ku byoya byokka ng'ettaka lyonna kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale nja kuteeka ebyoya by'endiga mu gguuliro ly'eŋŋaano. Ku makya omusulo bwe gunaaba ku byoya kwokka, ettaka nga kkalu, nja kumanya ng'onoonunula Yisirayeli ng'okozesa nze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, naateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; oba ng'omusulo gunaaba ku byoya byokka, ettaka lyonna nga kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.