Judges 6:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bwe kyaba. Bwe yazuukuka, eddiba, n'alikamulamu omusulo ekikopo kiramba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya by’endiga n’abikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba eky’amazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe kyali bwe kityo. Awo Gidyoni bw'eyagolokoka enkya ku makya n'akamula ebyoya by'endiga ne muvaamu amazzi agajjuza ekibya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kyaba. Gidiyoni bwe yazuukuka enkeera ku makya, n'akamula ebyoya by'endiga okubimalamu omusulo, ne bivaamu amazzi, ne gajjuza ekibya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe kyali bwe kityo: kubanga n'agolokoka enkya mu makya; n'akamula ebyoya, omusulo n'agumalamu mu byoya, amazzi ne gajjula ekibya.