Judges 6:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayongera n'agamba Katonda nti: “Toleka busungu bwo kunneesererako; nzikiriza nziremu nkusabe, ku mulundi guno ngezeeko omulundi omulala gumu gwokka n'eddiba. Ku luno, eddiba lyokka lye liba libeera ekkalu, ettaka lyo litobe omusulo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya by’endiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka, ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'agamba Katonda nti: “Tonsunguwalira, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka. Ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'agamba Katonda nti Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, era naayogera omulundi guno gwokka: nkwegayiridde, nkeme n'ebyoya omulundi guno gwokka; kaakano ebyoya byokka bibeere bikalu, omusulo gube ku ttaka lyonna.