Judges 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasiisira mu bo ne boonoona ebirime by'ensi okutuukira ddala e Gaza, nga tebalekaawo kaliibwa n'akamu mu Yisirayeli, si ndiga, si nte, si ndogoyi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kya kulya mu Isiraeri, wadde endiga oba ente oba endogoyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kyakulya mu Yisirayeli, wadde endiga oba ente oba endogoyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne basiisira ewaabwe, ne bazikiriza ebibala by'ettaka, okutuusa bw'otuuka e Gaaza so tebaaleka kya kulya mu Isiraeri, newakubadde endiga, newakubadde ente, newakubadde endogoyi.