Judges 6:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'akola atyo ekiro ekyo nga bwe yali asabye; eddiba lyokka lye lyali ekkalu, naye nga ku ttaka awalala wonna wabisse omusulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Katonda n’akola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya by’endiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'akola bw'atyo ekiro ekyo: kubanga ebyoya byokka bye byali ebikalu, omusulo ne guba ku ttaka lyonna.