Judges 6:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'abatumira omusajja omulanzi eyabagamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba nti: ‘Nze nabaggya mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba y'obuddu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’atumira Abayisirayiri Nnabbi, n’abagamba nti, “ Mukama Katonda w’Abayisirayiri agamba bw’ati: nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'atuma nnabbi eri abaana ba Isiraeri n'abagamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, nnabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'atuma omulanzi eri Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'atuma,nnabbi eri abaana ba Isiraeri: n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nabaggya mu Misiri ne mbalinnyisa, era nabaggya mu nnyumba y'obuddu;