Judges 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nabawonya mu mikono gya Misiri n'egy'abo bonna abaababonyaabonyanga; nabagobawo mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne mbanunula okuva mu mikono gy’Abamisiri, ne mu mikono gy’abo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'abawonya obuyinza, bw'Abamisiri n'obuyinza obwabo bonna ababajogeranga mu nsi eno mwe muli, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nabawonya obuyinza bw'Abamisiri n'obuyinza bw'abo bonna abaabajoogeranga mu nsi eno mwe muli. Abo ne mbagobamu nga mmwe mujja, ensi yaabwe ne ngigabira mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nabawonya mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gw'abo bonna abaabajooga, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe;