Judges 7:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku makya Yerubbaali (ye Gidewoni) bwe yazuukuka, n'abantu bonna abaali naye, n'asiisira kumpi ne Eni-Karodi; lwo olusiisira lwa Midiyaani nga lubali mu kiwonvu, kumpi n'olusozi More.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka ku makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali mu kiwonvu ku luuyi lwabwe olw'obukiikakkono ku mabbali g'olusozi Mole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali ku luuyi lwabwe olw'obuluika obwa kkono, ku mabbali g'olusozi Mole, mu kiwonvu.