Judges 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamidiyaani n'Abaamaleki n'abantu ab'ebuvanjuba baali bagumbye awo mu kiwonvu nga bali ng'enzige obungi; eŋŋamiya zaabwe nazo nga butabala, obungi nga ziri ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamidiyaani, Abamaleki n’Abamawanga amalala ag’ebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ng’enzige; era n’eŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ng’empeke z’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamidiyaani n'Abamaleki n'abantu b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamira ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamiya ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'Abamidiyaani n'Abamaleki n'abaana bonna ab'ebuvanjuba baali bateekeddwateekeddwa mu kiwonvu ng'enzige okuba abangi; n'eŋŋamira zaabwe tezaabalikika, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja okuba ennyingi.