Judges 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni we yatuukira nga waliwo eyali anyumiza munne ekirooto nti: “Naloose ekirooto; nalabye omugaati gwa sayiri nga guyiringita, ne gukka mu lusiisira lw'Abamidiyaani. Bwe gwatuuse ku weema, ne gugikoona, n'egwa ne yeevuunika n'esaanawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti, “Nnaloose omugaati gwa Sayiri, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti: “Naloose omugaati gwa bbaale, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gidyoni bwe yatuuka, laba, nga waliwo omusajja abuulira munne ekirooto n'ayogera nti Laba, naloota ekirooto, era, laba, omugaati ogwa sayiri ne gugwa mu lusiisira lwa Midiyaani, ne guyingira mu weema, ne gugikuba n'egwa, ne gugivuunika, eweema n'egalamira bugalamizi.