Judges 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munne kwe kuddamu nti: “Ekyo si kirala, wabula kitala kya Gidewoni, mutabani wa Yowasi Omuyisirayeli. Katonda awaddeyo Midiyaani n'ensiisira yonna mu mikono gye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munne n'addamu n'ayogera nti, “Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala, mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lye lyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munne n'addamu nti: “Ekyo kitala kya Gidiyoni, mutabani wa Yowaasi, Omuyisirayeli! Tekitegeeza kirala! Katonda amuwadde okuwangula Midiyaani n'eggye lyaffe lyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Munne n'addamu n'ayogera nti Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lyonna.