Judges 7:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni bwe yawulira ekirooto n'endootolola yaakyo, n'asinza, n'addayo mu lusiisira lwa Yisirayeli n'agamba nti: “Musituke, kubanga Omukama awaddeyo olusiisira lwa Midiyaani mu mikono gyammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yawulira ekirooto n'amakulu gaakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti, “Mugolokoke; kubanga Mukama agabudde egye lya Midiyaani mu mukono gwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni bwe yawulira ekirooto ky'omusajja n'amakulu gaakyo, n'asinza Katonda, n'addayo mu lusiisira lw'Abayisirayeli, n'agamba nti “Musituke! Mukama abawadde mmwe okuwangula eggye ly'Abamidiyaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yamuwulira ng'abuulira ekirooto n'okutegeeza kwakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti Mugolokoke, kubanga Mukama agabudde mu mukono gwammwe eggye lya Midiyaani.