Judges 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ebikumi ebisatu n'abagabanyaamu ebibinja bisatu, n'abawa eŋŋombe n'ensuwa enkalu nga zirimu ebitawuliro by'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayawulamu abasajja bali bisatu (300), n'abagabanyamu ebibinja bisatu (3), buli omu n'amuwa ekondeere n'ensuwa enkalu nga erimu ekitawuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Basajja be ebikumi ebisatu n'abagabanyaamu ebibinja bisatu. Buli musajja n'amukwasa eŋŋombe n'ensuwa enkalu, ng'erimu omumuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayawulamu abasajja bali ebikumi bisatu n'abafuula ebisinde bisatu, n'abakwasa bonna amakondeere mu ngalo zaabwe, n'ensuwa enkalu, ebitawuliro nga biri mu nsuwa.