Judges 7:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mutunule, kye mulaba nkola, nammwe kye muba mukola. Bwe nnaatuuka ku njegooyego z'olusiisira, kye nnaakola, nammwe kye munaakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mulabire ku nze, nammwe mukole nga bwe nkola, bwe nnaatuuka okumpi n'olusiisira nga bwe nnaakola nammwe bwe munaakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Bwe nnaatuuka ku njegoyego y'olusiisira, muntunuulire! Kye nnaakola, nammwe kye muba mukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mulabire ku nze; nammwe mukole bwe mutyo: era, laba, bwe nnaatuuka ku nkomerero y'olusiisira, awo nze nga bwe nnaakola, nammwe munaakola bwe mutyo.