Judges 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nnaafuuwa eŋŋombe era n'abo abali nange, nammwe eyo yonna okwetooloola olusiisira mufuuwe eŋŋombe nga bwe muleekaanira kumu nti: ‘Ku lwa Katonda ne Gidewoni!’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze nabo abali nange, bwe tunaafuuwa amakkondeere, nammwe ne mulyoka mufuuwa agammwe ku njuuyi zonna ez'olusiisira ne mulekana nti, ‘ba Mukama era ba Gidyoni.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ne bonna abali nange bwe tunaafuuwa eŋŋombe zaffe, olwo nammwe ne mufuuwa ezammwe wonna okwetooloola olusiisira, ne muleekaana nti: ‘Ku lwa Mukama ne ku lwa Gidiyoni!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze bwe nnaafuuwa ekkondeere, nze ne bonna abali nange, nammwe ne mulyoka mufuuwa amakondeere ku njuuyi zonna ez'olusiisiira lwonna, ne mwogera nti Ba Mukama era ba Gidyoni.