Judges 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'abasajja ebikumi ebisatu abaali naye ne batuuka ku njegooyego z'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kitandika, ng'abakuumi kye bajje bakyusibwe. Ne bafuuwa eŋŋombe n'okwasa ensuwa ze baali bakutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja ky’abakuumi, Gidyoni n’abalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa n’ensuwa ze baali bakutte.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gidyoni n'abasajja kikumi (100), abaali naye ne batuuka kumpi n'olusiisira ekiro mu ttumbi nga kye bajje basseewo abakuumi, ne bafuuwa amakkondeere, ne baasa n'ensuwa, ze baali bakutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Gidiyoni n'abasajja kikumi abaali naye, ne batuuka ku njegoyego y'olusiisira, ng'obudde bubulako katono okutuuka ettumbi, nga kye bajje bakyuse abakuumi. Ne bafuuwa eŋŋombe zaabwe, ne baasa ensuwa ze baali bakutte.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Gidyoni n'abasajja kikumi abaali naye ne batuuka ku nkomerero y'olusiisira ekisisimuka ekya wakati nga kyekijje kitanule nga kyebajje basseewo abakuumi ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa, ezaali mu ngalo zaabwe.