Judges 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Abantu bo bayitiridde obungi nze okubawa Midiyaani mu mikono gyabwe, sikulwa nga Yisirayeli anneewaanirako nti: ‘Maanyi gange ge gannunudde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okuwa okuwangula Abamidiyaani, kubanga Abaisiraeri bayinza okunneenyumiririzaako nga bagamba nti, ‘bawangudde lwa maanyi gaabwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okubawa okuwangula Abamidiyaani. Abayisirayeli bayinza okunneewaanirako nga bagamba nti bawangudde lwa maanyi gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu abali naawe bayinze obungi nze okuwa Abamidiyaani mu mukono gwabwe. Isiraeri aleme okunneenyumiririzaako ng'ayogera nti Omukono gwange nze gwe gundokodde.