Judges 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ebikumi ebisatu bwe baafuuwa eŋŋombe, Omukama n'aleeta okutabuka mu lusiisira; buli omu n'akyukira munne n'ekitala, ne badduka nga bwe baleekaana. Ne badduka okutuuka e Beti-Sitta ng'alaga e Zereda okutuukira ddala ku nsalo ya Abeli-Mekola e Tabbati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ba Gidyoni bwe bafuuwa amakkondeere gaabwe, Mukama naaleetera ab'eggye ly'omulabe okufumitagana bokka na bokka, buli omu nga alwanyisa munne n'ekitala; eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo ly'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ba Gidiyoni bwe bafuuwa eŋŋombe zaabwe, Mukama n'aleetera ab'eggye ly'omulabe okulumbagana bokka na bokka, buli omu ng'alwanyisa munne n'ekitala. Ne badduka okutuuka e Betusitta, okwolekera Zerera, okutuuka ku nsalo ne Abeli Mewola, okumpi ne Tabbati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bafuuwa amakondeere ebikumi bisatu, Mukama n'alwanyisa buli muntu ekitala kye okufumita munne era n'eggye lyonna: eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo 1y'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi.