Judges 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gidewoni n'atuma ababaka wonna mu nsozi za Efurayimu ng'agamba nti: “Mukkirire, mulumbe Midiyaani mubawambeko enzizi okutuuka e Beti-Bera ko ne Yorudani.” N'akoowoola abasajja bonna aba Efurayimu, ne babawambako enzizi okutuuka e Beti-Bera ko ne Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.” Awo abalwanyi bonna ab’omu kika kya Efulayimu ne bakoowoolwa, ne bawamba omugga Yoludaani n’enzizi zonna okutuukira ddala e Besubata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga ayogera nti, “Mujje mugende mutayize Abamidiyaani okuva ku mugga Besubala okutuuka ku Yoludaani.” Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, era ne bakwata ebitundu by'amazzi okutuukira ddala e Besubala, era ne Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gidiyoni n'atuma ababaka mu nsi yonna eya Efurayimu ey'ensozi, nga bagamba nti: “Muserengete okulwanyisa Abamidiyaani. Mwekwate Omugga Yorudaani n'ebitundu ebirala eby'amazzi okutuuka e Betubara.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga boogera nti Mujje muserengete ku Midiyaani, mubasooke okwekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani: Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, ne beekwata amazzi okutuuka ku Besubala, ye Yoludaani.