Judges 7:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno langirira nga bonna bawulira nti: ‘Atidde n'eyeekanzeemu addeyo, ave ku lusozi Gileyaadi.’ ” Abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne badda eka, ne wasigalawo omutwalo gumu gwokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kaakano genda olangirire eri abalwanyi bo nti, ‘Buli mutiitiizi yenna n’oyo akankana, ave ku lusozi luno Gireyaadi addeyo ewuwe.’ ” Abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo omutwalo gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano langirira mu bantu nti, ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku lusozi Gireyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000) ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu (10,000) ne basigala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano langirira mu bantu nti: ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku Lusozi Gileyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu ne basigala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ka1e nno kaakano genda olangire mu matu g'abantu nti Buli atya akankana, addeyo ave ku lusozi Gileyaadi. Ne waddayo ku bantu bukumi bubiri mu enkumi bbiri; ne wasigalawo kakumi.