Judges 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Era abantu bakyali bangi. Batwale ku mugga, eyo gye nzija okubalondoberamu. Bwe nnaagamba nti: ‘Ono agende naawe,’ oyo anaagenda; bwe nnaagamba nti: ‘Oyo tagenda naawe,’ tajja kugenda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu bakyali bangi; baserengese ku mazzi nange n'abakugeresezza eyo; awo olunaatuuka, eyo gwe nnaakugamba nti, ‘anaagenda naawe,’ ye anaagenda naawe; n'oyo gwe nnaakugamba nti, ‘taagende naawe,’ era taagende naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Abantu bakyayinze obungi. Baserengese ku mazzi, mbakulonderemu eyo. Oyo gwe nnaakugamba nti anaagenda naawe, oyo ye anaagenda naawe. Era buli gwe nnaakugamba nti ono tagenda naawe, ye ataagende naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu bakyayinze obungi; baserengese ku mazzi; nange naabakukemerera eyo: awo olunaatuuka eyo gwe nnaakugamba nti Ono anaagenda naawe, ye anaagenda naawe; era buli gwe nnaakugamba nti Ono taagende naawe, ye ataagende naawe.