Judges 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaakomba amazzi ng'ekibatu kigatuusa mu kamwa, baali abasajja ebikumi bisatu; abantu bonna abalala baanywa bafukamidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja bisatu (300), naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaasena amazzi mu bibatu byabwe ne bagakomba n'olulimi, baali ebikumi bisatu. Abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja ebikumi bisatu: naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.