Judges 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro ekyo kyennyini Omukama n'agamba Gidewoni nti: “Situka, serengeta olumbe olusiisira, kubanga nduwadde mu mikono gyo. 1
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Mukama Katonda n’amulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Golokoka olumbe olusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidiyoni nti: “Situka, olumbe olusiisira; ndukuwadde oluwangule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ekiro ekyo Mukama n'amugamba nti Golokoka, oserengete mu lusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo.